Listing 5000+ Islamic books in more than 30 languages. Read online or download in PDF.
agamba: Owange Omwagalwa wange [Nabbi صَلَّى اللهُ تَعَالٰى عَلَيْهِ وَاٰلِهٖ وَسَلَّم]! Ssaba e Du’a njakubazukiza.’ Nolw’ekyo Nabbi w’abantu, emirembe gy’omutima gwaffe n’ebirowoozo, Omugabi asinga bonna era Ow’ekisa صَلَّى اللهُ تَعَالٰى عَلَيْهِ وَاٰلِهٖ وَسَلَّم yasaba eDu’ā era abaana bombi bazuukira okuva mu bafu kulw’ekiragiro kya Allah عَزَّوَجَلَّ.’ (Shawahid-un-Nubuwwah, pp. 105; Madarij-un-Nubuwwah, vol. 1, pp. 199)
Tusaba Allah عَزَّوَجَلَّ abasaasire ate atusonyiwe awatali kubalibwa ku lwabwe!
آمِيۡن بِجَاهِ النَّبِيِّ الۡاَمِيۡن صَلَّى اللّٰهُ تَعَالٰى عَلَيۡهِ وَاٰلِه وَسَلَّم
Qalb-e-murdah ko mayray ab to jila do Aqa
Jam ulfat ka mujhay apni pila do Aqa
صَلُّوۡا عَلَى الۡحَبِيۡب صَلَّى اللّٰهُ تَعَالٰى عَلٰى مُحَمَّد
Abagalwa ab’oluganda abasiraamu! Nga ekitiibwa kya Nabbi waffe omwagalwa era Ow’emikisa Rasul صَلَّى اللهُ تَعَالٰى عَلَيْهِ وَاٰلِهٖ وَسَلَّم kinene nnyo! Yaliisa ekibinja ky’abantu ekinene n’emmere ntono etaakendera nako yadde abantu bonna baali balidde. Ekirala, yasobozesa embuzi okuzuukira okuva mu bafu ng’enyenya okutu kwayo ng’asoma ebigambo eby’emikisa nazuukiza abaana ba Sayyiduna Jabir ku lw’obuyinza bwa Allah عَزَّوَجَلَّ.
Sarkar khilatay hayn Sarkar pilatay hayn
Sulṭān-o-gada sab ko Sarkar nibhatay hayn
صَلُّوۡا عَلَى الۡحَبِيۡب صَلَّى اللّٰهُ تَعَالٰى عَلٰى مُحَمَّد