Listing 5000+ Islamic books in more than 30 languages. Read online or download in PDF.
Okugattako, Madaris nyingi nnyo endala eziyitibwa ‘Madrasa-tul-Madinah’ nazo zitandikiddwa munda n’ewabweeru wa Pakistan. Mu kubala okwafuluma mu Rajab-ul-Murajjab 1435 AH, Madaris kumpi 2064 zitandikiddwa mu Pakistan mwokka omuli kumpi abalenzi n’abawala 101410 abafuna okumanya kwa Hifz ne Nazirah awatali kusasula kwonna.
‘Ata ho shauq Maula Madrasay mayn aanay janay ka
Khudaya zauq day Quran parhnay ka, parhanay ka
Amakulu: Owange Ow’ekitiibwa! Nsobozesa nsome mu Madrasah, njige Quran Entukuvu era ngisomese abalala n’obwagazi bungi.
صَلُّوۡا عَلَى الۡحَبِيۡب صَلَّى اللّٰهُ تَعَالٰى عَلٰى مُحَمَّد
Ekimu ku bitoongole bya Dawat-e-Islami – Madrasa-tul-Madinah ey’abakulu – ekifudde kyangu nnyo eri omuvubuka omuto okuyiga Quran n’empisa enungi, okufuna obwagazi eri okusiinza n’okufuula obulamubw ebw’oluvanyuma okubeera obulungi ennyo. Wano waliwo mu bumpimpi ebimu ku byagambibwa ow’oluganda omusiraamu: Nnali nkoze ebibi bingi nnyo ng’okutuusa VCR-cable, okubeera n’abayaaye ekiro, okulaba filimu bbiri oba ssatu buli lunaku n’okwetaba mu bivvulu ekiro kiramba.
BOOK TOPIC
BOOK TOPIC