Listing 5000+ Islamic books in more than 30 languages. Read online or download in PDF.
bingi; kiwandikidwa mu Sirājīyaĥ ne mu Ĥindiyyaĥ: ‘Emyeezi musaanvu egy’olubuto lw’omukyaala gyaali giyise ate omwaana yali ataambulira mu lubuto. Omukyaala yafa naziikibwa. Omuntu yalaba mu kirooto nti omukyaala yali agamba ‘Nzadde omwaana’; mu mbeera eno entaana teja kusimibwa (kuggulwaawo)’ وَاللہُ تَعَالٰی اَعۡلَمُ i.e. Allah (عَزَّوَجَلَّ) yasinga okumaya. (Fatāwā Razawiyyaĥ, Vol. 9, pp. 405-406)
Soma ekibuuzo kino eky’omugaso ennyo n’okwanukula okukwaata ku kuggulawo (okusima) entaana (amalaalo) okuva mu mpapula 501–503 eza Malfūẓāt-e-A’lā Haḍrat:
Ekibuuzo: Entaana teteredwaako nkokozto ate amazzi gagijula mu buli enkuba lwetonya. Kikkirizibwa okuzibikira amazzi mwegayingirira?
Okwanukula: Tewali kibi mu kuzibikira entaana; naye terina kuggulwaawo. Omufu bwaziikibwa ettaka nerimute kerwaako, liba likwasidwa Allah عَزَّوَجَلَّ, ate tekikkirizibwa ku liggulawo. Kino kiri nti kubanga omufu tali mu mbeera okujjako bbiri mu ntaana; abeera abonerezebwa, oba abeera ali mu ssanyu. Bwaaba nga abonerezebwa, olwo nno amulaba ajakuna kuwazibwa olwakino ate talina kyayinza kumukolera, ate omufu bwaaba nga ali mu ssayu ly’ebengera olwo nno ye (omufu) aja kunakuwazibwa.
BOOK TOPIC
BOOK TOPIC