Listing 5000+ Islamic books in more than 30 languages. Read online or download in PDF.
1. Buli lwolambula amasiro amatukuvu, gasemeberere ku ludda lw’ebigere oyolekere era oyimirire mumaaso ga feesi ku buwanvu obw’ebigere nga bina (4) era otuuse okulamusaa kwo mu ddoboozi ely’awakati mu ngeri eno: اَلسَّلَامُ عَلَیۡکَ یَاسَیِّدِیۡ وَرَحۡمَۃُ اللہِ وَبَرَکَاتُہٗ, oluvanyuma soma Durūd Ghaušiyyaĥ emirundi 3, Sūraĥ Fātiḥaĥ omulundi gumu, Ayāt-tul-Kursī omulundi gumu, Sūraĥ Ikhlāṣ emirundi musanvu, Durūd Ghaušiyyaĥ emirundi musanvu, ate akaseera wekabaawo, soma Sūraĥ Yāsīn ne Sūraĥ Mulk nayo, ate oluvanyuma osabe Allah عَزَّوَجَلَّ mu ngeri eno:
‘Ayi Mukama wange! Mpa empeera y’olusoma luno ng’osinziira ku bugabi bwo, so si ku kikolwa kyange, ate gisindike ng’ekirabo okuva ku nze eri omuntu ono akkirizidwa.’ Oluvanyuma saba ekintu kyona kyoyagala ekikirizibwa, ng’oteeka omwooyo gw’omulongoofu oyo mu maaso ga Allah عَزَّوَجَلَّ nga Wasīlaĥ (obutabaganya). Oluvanyuma lamusa neera nga waggulu ate oddeyo.
(Fatāwā Razawiyyaĥ, Vol. 9, pp. 522)
BOOK TOPIC
BOOK TOPIC