Book Name:Faizan e Shab e Barat

kyasaba? Waliyo omuntu yenna  abonaabona mbeere nga mmuja mu kubonaabona kwe? Waliyo omuntu bwati ne bwati…’. Allah عَزَّوَجَلَّ asigala alangirira ekyo okutuusa ekiseera kya Fajr.’

(Sunan Ibn Majah, pp. 160, vol. 2, Hadis 1388 – Dar-ul-Ma’rifah, Beirut)

Akakisa akasasuza ennyo

Ebitabo by’emirimu bikyuusibwa ku Shab-e-Bara-at. Bwekiba kisoboka, siiba ku 14th Sha’ban obeera nga okusiiba kuwandikiddwa mu kuggalawo ekitabo kyo eky’emirimu.

Ku 14th Sha’ban, ng’omaze okusaala eJammah ya Salah ya ‘Asr kirungi okubeera mu I’tikaf era osigale mu Masjid n’eNiyyat ey’okulinda Salah ya Maghrib. Mu ngeri eno ekiseera ekisembayo nga ekitabo ky’emirimu kiri kumpi kukyusibwa, embeera z’okubeera mu Masjid, okubeera mu I’tikaf, n’okuliindirira okusaala Salat-ul-Maghrib etc. zija kuwandikibwa mu. Ate zaabu nnyo okubeera nga ekiro kyonna okimala mu kusinza Allah عَزَّوَجَلَّ.

Obukuumi okuva ku ddogo okumala omwaaka mulamba

Kiwandikiddwa ku lupapula 134 olw’ekitabo ‘Islāmī Zindagī’, ekirimu empapula 170, ekyafulumizibwa  Maktaba-tul-Madīnaĥ, ekitongole ekifulumya ebitabo ekya Dawat-e-Islami: ‘IMu kiro kya 15th Sha’ban, fuumba obukoola musaanvu obw’omuti gwa ‘berry’ mu mazzi, naaba Ghusl n’amazzi ago (nga gawoze) اِنْ شَــآءَالـلّٰـه عَزَّوَجَلَّ ojakufuna obukuumi okuva ku ddogo okumala mwaaka mulamba.’

Nawafil mukaaga oluvannyuma lwa Salat-ul-Maghrib

Okusaala Rak’aat mukaaga eza Nafl oluvannyuma lwa Fard ne Sunan za Salat-ul-Maghrib kimu kun kola y’abalonguufu رَحِمَهُمُ الـلّٰـهُ تَـعَالٰی ab’obusiraamu. Oluvannyuma lw’okusaala Fard ne Sunan etc., saala Rak’aat mukaaga eza Nafl mu bitundu bya  bbiri bbiri.  Nga tonnaba kusaala Rak’aat ebbiri ezisooka, kola eNiyyah eno: ‘Ya Allah عَزَّوَجَلَّ! Ku lw’obulungi bwa Rak’aat ebbiri zino, mpa obulamu obuwaanvu era obulungi.’

Mu ngeri y’emu, nga tonnaba kusaala Rak’aat ebbiri eziddako, kola eNiyyah eno: ‘Ya Allah عَزَّوَجَلَّ! Ku lw’obulungi bwa Rak’aat ebbiri zino, nkuuma okuva ku bizibu byonna.’ Nga tonnaba kusaala Rak’aat ebbiri ezisembayo, kola eNiyyah eno: ‘Ya Allah عَزَّوَجَلَّ! Ku lw’obulungi bwa Rak’aat ebbiri zino, tonteeka kwesigamira muntu yenna okujjako Ggwe.’

Oluvannyuma lwa buli Rak’aat bbiri, soma Surah al-Ikhlas emirundi abiri mu gumu oba Surah Yasin omulundi gumu. Bwekiba kisoboka soma byombi. Kisoboka nti ow’oluganda omusiraamu omu asoma Surah Yasin ng’abalala bagiwuliriza. Kiteeke mu bwogo nti ab’oluganda abasiraamu abalala tebalina kusoma Surah Yasin etc. mu lwaatu sekkinnoomu nga okusoma kugenda mu maago mu lwaatu. اِنْ شَــآءَالـلّٰـه عَزَّوَجَلَّ Empeera nnyingi nnyo zija kukunganyizibwa gyooli muntandikwa y’ekiro kino eky’emikisa. Buli luvannyuma lwa Surah Yasin, soma edduwa ya Nisfu-Sha’ban.

Some Madanī Requests by

Sag-e-Madinah

اَلْـحَمْـدُ لـِلّٰـه عَزَّوَجَلَّ! Ebadde nkola ya Sag-e-Madinah kuva dda okusaala Nafl mukaaga n’okusoma Quran Entukuvu ku Shab-e- Bara-at nga bwekinyonyoddwa waggulu. Ensiinza eno oluvannyuma lwa Maghrib eri Nafl. Tekiri Fard ate tekiri Wājib ate tewali kugaanibwa mu Shari’ah okukwaata ku Nafl ne Tilawah oluvannyuma lwa Maghrib.

Okusaba kwa Madanī: N’olwekyo, bwekiba kisoboka, ab’oluganda abasiraamu bonna balina okusaala zino Nawafil omukaaga n’okusoma azikaari oba edduwa endala oluvannyuma lwa Salah ya Maghrib mu Masjid z’abwe okufuna empeera enyingi. Banyinna abasiraamu basobola okukola ensiinza zino mu maka gabwe.

 

6 Sha’ban-ul-Mu’azzam 1431 AH

19-July-2010