Book Name:Faizan e Shab e Barat

اَلْحَمْدُ لِلّٰہِ رَبِّ الْعٰلَمِیْنَ وَ الصَّلٰوۃُ وَالسَّلَامُ علٰی سَیِّدِ الْمُرْسَلِیْنَ ط اَمَّا بَعْدُ فَاَعُوْذُ بِاللّٰہِ مِنَ الشَّیْطٰنِ الرَّجِیْمِ ط  بِسْمِ اللہِ الرَّحْمٰنِ الرَّ حِیْم ط

Obulungi bwa  Shab-e-Bara-at

Omwezi gwa Nabbi صَلَّی اللہُ تَعَالٰی عَلَیْہِ وَاٰلِہٖ وَسَلَّمَ

Nabbi wa Rahmah, Omuwolereza wa Ummah, Nannyini Jannah صَلَّى اللهُ تَعَالٰى عَلَيْهِ وَاٰلِهٖ وَسَلَّم yagamba: ‘Sha’ban mwezi gwange ate Ramadan mwezi gwa Allah عَزَّوَجَلَّ.’ (Al-Jami’-us-Saghir, pp. 301, Hadis 4889 – Dar-ul-KutubIlmiyyah, Beirut)

Olukalala lw’abafu lukolebwa

SayyidatunaAishah Siddiqah رَضِیَ اللهُ تَعَالٰی عَنْهَا yagamba, Nabbi Omwagalwa era Ow’emikisa صَلَّى اللهُ تَعَالٰى عَلَيْهِ وَاٰلِهٖ وَسَلَّم yali asiiba mu Sha’ban.’ Ye رَضِیَ اللهُ تَعَالٰی عَنْهَا lumu yabuuza, ‘Ya Rasulallah صَلَّى اللهُ تَعَالٰى عَلَيْهِ وَاٰلِهٖ وَسَلَّم! Lwaki oyagala nnyo okusiiba mu Sha’ban?’ Nabbi صَلَّى اللهُ تَعَالٰى عَلَيْهِ وَاٰلِهٖ وَسَلَّم yaddamu, ‘Allah عَزَّوَجَلَّ awandiika erinnya lya buli muntu anaafa omwaaka guno ate njagala kubeera nga nsiibye mu kaseera k’okufa kwange.’ (Musnad Abi Ya’la, pp. 277, vol. 4, Hadis 4890 – Dar-ul-KutubIlmiyyah, Beirut)

Okusalawo okunene

Abagalwa ab’oluganda abasiraamu! Nga ekiro kya 15th ekya Sha’ban-ul-Mu’azzam kinene nnyo! Ani amanyi kki ekimugerereddwa. Oluusi, omutnu tafaayo naye tamanyi kiki ekiterekeddwa gyali. Kiwandikiddwa mu Ghunya-tu-ālibīn, ‘Enssanda z’abantu bangi ziyizeddwa naye abanyu abagenda okwanbala essanada ezo betala mu butale. Waliyo abantu bangi entaana zabwe ezimaze okusimibwa era zibalinze naye abo abagenda okuzikibwa mu babulide mu masanyu. Abantu abamu baseka naye ekiseera ky’okuzikirira kwabwe kiri kumpi nnyo. Okuzimba kw’amayumba mangi kugenda kuggwa naye akaseera k’okufa ok’abanannyinizo nako kasembede.’  (Ghunya-tut-Talibin, pp. 348, vol. 1)

Abantu abasubiddwa

Abagalwa ba’oluganda abasiraamu! Shab-e-Bara-at kiro kinene nnyo ate tekirina kumalibwa mu bya mbyone. Okufukumuka kw’emikisa egy’enjawulo ku kka mu kiro kino ekitukuvu. Mu kiro kino, Allah عَزَّوَجَلَّ ajja abantu mu muliro mu muwendo ogusinga enviiri ku mbuzi z’ekika kya Banī Kalb. Kiwandikiddwa mu bitabo nti ekika kya Banī Kalb kyekyali kisinza embuzi enyingi mu bika byonna mu Bawarabbu.

Naye! Waliyo abantu abamu ab’omukisa omubi abalangiddwa nti tebaja kufuna kusonyiyizibwa mu Shab-e-Bara-at i.e. ekiro ky’okununulwa. Shaykh Imam Bayhaqi Shafi’i عَـلَيْهِ رَحْـمَةُ الـلّٰـهِ الۡـقَـوِی yagamba mu ‘Faāil-ul-Awqāt’: Nabbi wa Ramaĥ, Omuwolereza wa Ummaĥ صَلَّى اللهُ تَعَالٰى عَلَيْهِ وَاٰلِهٖ وَسَلَّم yalabula; ‘Abantu mukaaga tebaja kusonyiyizibwa yadde ne mukiro ekyo:

(1) Omutamiivu (2) Oyo ajeemera bakadde be. (3) Oyo alina omuze gw’obweenzi.  (4) Oyo eyeyawula ku b’engada. (5) Oyo akuba ebifananyi.  (6) Oyo aliimba. (Faḍāil-ul-Awqāt, pp. 130, vol. 1, Hadis 27 – Maktaba-tul-Manarah, Makka-tul-Mukarramah)

Mu ngeri y’emu, oyo ay’ogera ebijja, omulogo, oyo elebeesa Shalwar ye oba Tahband wansi w’obukongovule olw’okwelaga, n’oyo alina obukyaayi oba ennugu eri omusiraamu omulala balabuddwa okubeera nti tevafuna kusonyiyizibwa. Omuntu yenna bwaba nga yali yetaba mu kimu ku bibi ebyo waggulu alina okwenenya okuva ku ntobo y’omutima gwe okuva ku kibi ekyo kyennyini ate n’okuva kubibi ebirala byonna awamu Shab-e-Bara-at tennaba kutuuka; okusinga alina okwenenyeza ddala mu kaseera kano kennyini awatali kuliinda kwonna. Omuntu yenna bwaba nga yali alyazamaanyizza abalala, olwo nno, okugata ku kwenenya, alina okusaba ekisonyiwo okuva kw’abo abantu oba abasasule.

Okusiiba ku 15th of Sha’ban

Sayyidunā ‘Ali کَـرَّمَ الـلّٰـهُ تَـعَـالٰی وَجۡـھَـهُ الۡـکَـرِیۡم yagamba nti Nabbi Omutukuvu صَلَّى اللهُ تَعَالٰى عَلَيْهِ وَاٰلِهٖ وَسَلَّم yagamba, ‘Ekiro kya 15th Sha’ban bwekijja, kola Qiyam (ey’okusiinza) mu kiro ekyo ate siiba emisana. Tewali kubuusabuusa Allah عَزَّوَجَلَّ assa Okweyolesa Kw’obwakatonda ku ggulu waggulu w’ensi okuva mu kaseera ng’enjuba egudde era nalangirira, ‘Waliyo omuntu yenna asaba okusonyiyizibwa mbeere nga mmusonyiwa? Waliyo omutnu yenna anoonya okugabirwa mbeere nga mmuwa